TOP

Ebitongole biwe abazannyi emirimu

Added 22nd October 2020

NNANKULU w'ekitongole kya KCCA, Dorothy Kisaka asaanye atandike okuwa abazannyi ba KCCA FC emirimu naddala abo abalina obuyigirize, kiraabu esobole okunywera n’okwekkiririzaamu.

Abazannyi ba KCCA nga bajaganya olw'okuwangula ekikopo kya Super Cup gye buvuddeko

Abazannyi ba KCCA nga bajaganya olw'okuwangula ekikopo kya Super Cup gye buvuddeko




Gye buvuddeko Kisaka yakyalira kiraabu eno e Lugogo n'agisuubiza ebirungi omuli naye kennyini okulaba emipiira gya liigi n'egya CAF n'alaga nga bw'egenda okweyongera amaanyi.

Obwagazi bwa Kisaka eri kiraabu eno bunzijukiza Jennifer Musisi bwe yalina era ekyavaamu kiraabu kufuuka 'Ssaalongo', ekintu ekyali kyalema abaasookawo sso nga kiraabu nzito ate ng'ebaddeko n'abazannyi abalungi okuva lwe yatandikibwawo mu 1957.

Musisi yalaga abazannyi n'abakungu bonna be yakola nabo omukwano ekyayamba okuggyawo olukonko olutera okubeerawo wakati w'abazannyi, abakungu n'abakulira ekitongole. Ensonga yokka gy'ataatunulamu yali ya kuwa abazannyi abasomye emirimu mu kitongole sso nga kyongera amaanyi, okwagala n'okufiiririra kiraabu yaabwe mu mbeera yonna.

Mister Jaberi Bidandi Ssali n'omugenzi Jack Ibaale enkola eno baagikolako, era abazannyi nga Godfrey Kisekka, Sam Ssimbwa, Tom Lwanga, Wilber Musika n'abalala baagifunamu era yakuumira nnyo abazannyi awamu nga tebaseguka.

Olw'okuba Bidandi ne Ibaale baali bamanyi okuzimba abazannyi mu kisaawe n'ebweru waakyo, baazimba Kisekka n'atuuka n'okufuuka ssentebe wa kiraabu ate abamu ku bazannyi ne bafuuka abatendesi nga tebawanuuza b'ebweru', ekyayongera okukuuma ennono ya kiraabu.

Wadde omupiira gugudde nnyo olw'okuvuganya okutono mu bazannyi, kiraabu zonna ezaali ziwa abazannyi baazo emirimu omuli Coffee, UEB/UMEME, SCOUL, Nile, UCB, Bell n'endala, zaali nga nzibu okuwangulwa kubanga abazannyi baafunanga emisaala ebiri, ng'ogumu bwe gulwayo omulala gutuuka mu budde.

Bannamupiira bangi baali batidde nga bagamba nti Kisaka ayinza obutakolera kiraabu nga gwe yaddira mu bigere, naye nnavaayo mu muko guno nga Pulezidenti Museveni amaze okumulonda ne mbagamba nti naye mwagazi wa mizannyo mpozzi abanaamubeera ku lusegere be banaamwonoona.

Ebigambo byange ‘tebyansala' kubanga mu mwezi gumu nga Kisaka atandise emirimu yakyalira kiraabu, era kyansanyusa kubanga abakulira ebitongole bangi kiraabu baziwulira buwulizi nga ne gye zitendekebwa tebamanyiiyo. Wano Kisaka yayoolerawo obubonero, aba URA ebyammwe biri bitya?

Ndowooza nti Kisaka bw'anaazimbira ku bya Musisi, n'ayongerako eky'okuwa abazannyi emirimu obwasseruganda mu kiraabu bwakweyongera. Wabula tekisaanye kukoma ku bazannyi, naye kitwaliremu n'abakungu abamu kubanga guno gwe musingi kwe yazimbirwa.

Kiraabu z'ebitongole nnyingi ezaali ziyimirizaawo omupiira n'emizannyo emirala zaagwa olw'ensonga eziwerako, naye enkulu zaavanga ku ani aweereddwa okukulira ekitongole ekyo. Singa ne Kisaka abadde talina bwagazi eri KCCA FC nayo yandiserebye kubanga amaanyi gava waggulu.

Kisaka era asaanye awagire enteekateeka ya Bidandi ey'okulondera kiraabu eno ‘Board of Trustees' ejja okuyambako mu kuluhhamya olukiiko olufuzi ssaako okuwanirira kiraabu singa ekitongole kiba kifunyeemu ebizibu. Abalowooleza mu kuddukanya kiraabu obwannamunigina bamala biseera!

Omuko guno nguwaddeyo eri Bidandi Ssali ne Ibaale abaayagala nga abazannyi nga abaana baabwe ne batuuka n'okubafuniranga emirimu mu kitongole kya KCC, Alex Kiseego ne Bakyayita Ssemugabi mu Coffee n'abalala.

Abakungu abaliwo kati, lwaki mwagala nnyo okulya ku bazannyi ensimbi zaabwe okusinga okubazimba nabo bakulaakulanire wamu nammwe kubanga ebizimbe bingi bye muzimba ku nsimbi za bazannyi bo ne beerya nkuta!

kateregaya@yahoo.com

0782077016 /0703286309Ebitongole

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...