TOP

Poliisi eyongedde Cheptegei ennyota

Added 27th October 2020

OMUDDUSI Joshua Cheptegei ayongedde okugwa mu bintu, ekitongole kya Poliisi bwe kimulinnyisizza eddaala ne kimuwa ennyota ssatu.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Akulira emizannyo mu Poliisi, AIGP Andrew Sorowen ng’ayambaza Cheptegei ennyota.

Mu ngeri y'emu, poliisi emubbuddemu ekisaawe kyayo eky'e Kapchorwa nga akabonero k'okumusiima okussa Uganda ku maapu ng'amenya likodi z'emisinde ez'enjawulo.

Kiddiridde Cheptegei 24, okumenya likodi 4 ez'ensi yonna mu mwaka gumu. Eya kiromita ettaano (5) ne 15 nga si za kwetoooloola kisaawe, eya mmita 5,000 ne mmita 10,000 nga za kwetooloola kisaawe.

Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yategeezezza eggulo nti nga bakolera ku biragiro bya Pulezidenti Museveni, n'omuduumizi wa poliisi, Okoth Ochola, baggye Cheptegei ku ddaala lya Inspector of Police (IP) okudda ku lya Assisitant Superitendent of Police (ASP)era ng'agenda kubeera n'ennyota ssatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...