TOP

Muve ku masanyu mukuze ttalanta - Wa NCS

Added 3rd December 2020

Olivia Nakyeyune (ku kkono), maama wa Bogere, Enabu, Kiplimo ne Dr. Rukare.

Olivia Nakyeyune (ku kkono), maama wa Bogere, Enabu, Kiplimo ne Dr. Rukare.

SSENTEBE w'akakiiko ka NCS, akatwala emizannyo mu ggwanga, Dr. Donald Rukare, akuutidde bannabyamizannyo okulemera ku mulamwa, basobole okutuukiriza ebirooto byabwe.

Yagambye nti teri kisinze kutta bitone bya bannabyamizannyo ng'okwettanira amasanyu ne beerabira nti emizannyo kati bizinensi eyeetaaga okuwa obudde 100 ku 100. Yabadde akwasa bannabyamizannyo abaasukkulumye mu bannaabwe omwezi ogudde, engule ya ‘Fortebet Real Star Sports Awards', eggulo ku wooteeri ya Cooper Chimney e Lugogo.

"Nneebaza abavujjirizi b'engule zino kuba si bangi abasobola okuddiza bannabyamizannyo naddala mu kiseera eky'okusoomoozebwa olwa Corona. Abawanguzi mbakuutira musigale ku mulamwa mwelese amasanyu, lwe mugenda okutuukiriza ebirooto byammwe," Rukare bwe yagambye.

Jimmy Enabu, kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga eya basketball (Silver Bucks), Ivan Bogere omuteebi wa ttiimu y'eggwanga eyabatasussa myaka 20 (The Hippos), n'omuddusi Phillip Kiplimo, be baanywedde mu baalla akendo.

Enabu ne Bogere baayambye ttiimu zaabwe okugenda mu za Afrika, ate Kiplimo yawangula emisinde gya ‘NBC Tanzania marathon (kiromita 42), egyabadde e Tanzania omwezi oguwedde, nga yaddukidde essaawa 2:17:26.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....