TOP

Abookubaka beekengedde okugenda e South Afrika lwa Covid-19

Added 30th December 2020

EKIBIINA ekiddukanya okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation (UNF) kigobye okusaba South Africa kwe yaleeta ng’eyagala okukyaza ‘She Cranes’ mu kikopo kya International Diamond Challenge Cup omwezi ogujja.

Dr. Benard Ogwel, Patron wa She Cranes (ku kkono) bwe yali abasiibula gye buvuddeko. EKIF: GERALD KIKULWE

Dr. Benard Ogwel, Patron wa She Cranes (ku kkono) bwe yali abasiibula gye buvuddeko. EKIF: GERALD KIKULWE

Wiiki bbiri emabega Cecilia Molokwane, pulezidenti w'ekibiina ky'okubaka e South Africa yatuusa ebbaluwa eri Suzan Anek Ongom pulezidenti w'okubaka mu Uganda ng'asaba ‘She Cranes' okwetaba mu nzannya ez'omukwano ez'ekikopo kino wakati wa January 20-27, 2021.

Ekikopo kino kitegekebwa South Afrika buli mwaka nga kyetabwamu ensi essatu ezikulembedde mu nsengeka z'ensi yonna ku lukalu lw'Afrika omuli ‘Spar Protea ttiimu y'eggwanga lya South Africa, Malawi abali mu kyokubiri ne Uganda abookusatu.

Suzan Anek Ongom pulezidenti w'okubaka mu Uganda agamba nti omukisa guno mulungi nnyo eri ‘She Cranes' kuba bafuna okwegezesaamu butya bwe bayimiridde buli mwaka nga bazannya ensi ennene mu kubaka naye embeera ya ssennyiga omukambwe eyeeyongedde nga ne South Afrca yazzeeyo ku muggalo, tebagenda kugenda mu mpaka zino.

"Buli muzannyo gunyuma abazannyi balamu bulungi, sisobola kuteeka bawala bange mu katyabaga ka Covid-19 kubanga njagala bazannye, okutuusa ng'embeera ezze mu nteeko, okubaka bwe kujja okutunyumira," Anek bwe yategeezezza.

Agattako nti baamaze okwogerezeganya ne South Africa "Ssinga March 2021 atuuka ng'embeera ya Covi-19 ewa essuubi, tujja kugenda tuzannye ne South Africa naye ku ssaawa eno tekisoboka," bwe yagasseeko.

Uganda ekwata ekifo kya 7 mu nsi yonna ate mu Afrika yaakusatu emabega wa South Africa ne Malawi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ono bamukubye akalulu e Men...

KATEMBA abadde mu kifo awagattirwa obululu e Kololo owa NRM Kayigo Kikulwe abadde yeeyita America olw'amaanyi ge...

Bobi Wine ne Barbie lwe baagenda okwewandiisa.

Barbie alojja ennaku gy'ala...

Barbie Itungo Kyagulanyi muk'omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alojja ennaku gy'alabidde...

Omugenzi Tamale lwe baamukwatira mu bumenyi bw'amateeka.

Gwe baakutte ng'abba e Kawa...

ABATUUZE b'e Kawanda bataayiizza omuvubuka abadde mu kibinja ky'ababbi ne bamukuba ne bamutta ne bamulesa bbebi...

Omubaka Kayemba.

Ebbeeyi y'emmwaanyi, amalwa...

Omubaka omulonde owa Bukomansimbi South, Geoffrey Kayemba Solo agambye nti baakugenda mu maaso n’okugoberera ebiragiro...

Babiri balumiziddwa mu kabe...

Abantu babiri ababadde batambulira ku bodaboda emmotoka ewabye n’ebatomera okukakkana ng’omu emumenye okugulu n’omulala...