TOP

Muhangi ayimirizza okusunsula ey'eggwanga

Added 19th January 2021

EKIBIINA ekidukanya ebikonde mu ggwanga (UBF) kyongezzaayo okusunsulamu kwa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ eyeetegekera empaka z’e Bufalansa omunaggyibwa abalyetaba mu mizannyo gya Olympics.

Meddie Lubega (ku kkono) owa Lukanga Boxing Club ng’attunka ne Joshua Male owa Zana Boxing Club gye buvuddeko.

Meddie Lubega (ku kkono) owa Lukanga Boxing Club ng’attunka ne Joshua Male owa Zana Boxing Club gye buvuddeko.





Okusunsulamu kubadde kwakubaawo ku nkomerero ya mwezi guno ate ez'e Bufalansa zikwajjire mu kibuga Paris mu June.

Pulezidenti wa UBF, Moses Muhangi yagambye nti tebasobola kuyita ttiimu olw'embeera ey'obunkenke gye balimu mu kiseera kino ng'abazannyi babuzibwawo abantu abatategeerekeka ekivuddeko abamu ku batendesi n'abazannyi okudduka mu maka gaabwe .

"Katwongezeeyo okusunsulamu kwa ttiimu okutuusa ng'embeera eteredde," Muhangi bwe yagambye.

Yagasseeko nti "Tusaba abazannyi babe bakkakkamu basigale mu kutendekebwa kwa kiraabu zaabwe okutuusa bwe tunakakasa nti buli kimu kiteredde."

Mu kusooka, UBF yalangirira nti abazannyi abaatuuka ku ‘quarter' ne ‘semi' mu z'okusunsulamu e Senegal omwaka oguwedde be baali ab'okwetaba mu z'e Bufaransa kyokka ate Muhangi n'ategeeza nga bwe baali bagenda okuddamu okusunsula olw'ebbanga eddene abazannyi lye bamaze nga tebalina mpaka za muzinzi ze beetabyeemu olwa corona.

Uganda yaakayisaamu omuzannyi omu, Shadir Musa azannyira mu buzito bwa ‘welter' eyayitiramu e Senegal.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...