TOP

'Ababaka mulwanirire emizannyo mu Palamenti'

Added 19th January 2021

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza lya Busiro n’alaajanira bannabyamizannyo abawangudde obubaka bwa Palamenti obuteerabira mizannyo.

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

Bya JAMES MAGALA
PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y'essaza lya Busiro n'alaajanira bannabyamizannyo abawangudde obubaka bwa Palamenti obuteerabira mizannyo.
Bino yabikoze ku Ssande bwe yakyazizza ttiimu ya Busiro n'agiwa omuceere, obuwunga, amazzi ne ssente enkalu ssaako okubasabira bawangule ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Pasita Musisi, era nga y'akulira ekibiina ekigatta abaazannya ku mupiira ekya Former Players Initiative yennyamidde ku ngeri bannabyamizannyo gye basuuliriddwaamu ensangi zino.
"Ndi musanyufu olwa bannabyamizannyo ab'enjawulo abaawangudde ebifo by'obubaka bwa Palamenti okuli pulezidenti wa FUFA, Moses Magugo, Paul Nsubuga maneja wa ttiimu yaffe eya Busiro n'abalala. Bayogeeyoge kyokka mbasaba okukiikirira obulungi bannabyamizannyo babatuusize eddoboozi lyabwe okulaba nga bava mu mbeera embi," bwe yategeezezza.
Magogo yawangudde obubaka bwa Budiope East ate Nsubuga y'owa Busiro North. Yasabye Nsubuga okukozesa ekifo kye ekipya okukuza ttiimu ya Busiro esukke ku musingi gw'Essaza ku ssaza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...

Kushaba ku mudaala gwe ogw'engoye.

Susan Kushaba asuuzizza Kay...

Abasuubuzi abakolera mu katale ka St. Balikuddembe akamanyiddwa nga Owino, bajaganya olw'okulondebwa kwa Susan...

Ali Kalungi eyali RDC we Otuke, Rev. Peter Bakaluba Mukasa ssentebe wa LCV omulonde ne RDC Fatumah Ndisaba Nabitaka mu lutuula lwa  kanso y'e Mukono.

Mukono bayisizza ekiteeso N...

Abakiise ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Mukono bakanyiiza ne bayisa ekiteeso eky'e Ssaza ly'e Nakifuma okwekutula...