TOP

Cranes lwe yasimattuka okufiira mu nnyonyi

Added 20th January 2021

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza; Nga April 27, 1993 abazannyi n'abakungu ba ttiimu y'eggwanga eya Zambia baafiira ku kisaawe e Libreville ekya Gabon nga bagenda okuzannya ne Senegal mu gyasunsula abeetaba mu World Cup ya 1994.

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

Cranes eyasamba Congo Brazaville e Kumasi .

EMIZANNYO gizze gigwamu ebikangabwa eby'amaanyi ne mufiiramu abazannyi. Ebimu ku bino bwe bubenje bw'ennyonyi okugeza; Nga April 27, 1993 abazannyi n'abakungu ba ttiimu y'eggwanga eya Zambia baafiira ku kisaawe e Libreville ekya Gabon nga bagenda okuzannya ne Senegal mu gyasunsula abeetaba mu World Cup ya 1994.
Ate nga February 6, 1958, ttiimu ya ManU yagwa ku kabenje e Munich mu Girimaani ng'eva okuzannya ne Red Star Belgrade (Yugoslavia) ne kufaako abantu 23. Ate nga October 29, 2018, nnaggagga wa Leicester City, Vichai Srivaddhanapradoha naye yafiira mu nnyonyi nga yaakasimbula ku kiasawe (King Power Stadium) kya kiraabu eno.
Wano mu Uganda, ekyekango ky'akabenje k'ennyonyi kyaliwo mu 1978 nga ttiimu y'eggwanga eya Cranes yasimattukira watono. Cranes yali eva Accra ekya Ghana gye yakubirwa bannyinimu ggoolo 2-0 ku fayinolo eyali mu kibuga Kumasi.
Nga March 17,1978, abakungu n'abazannyi ba Cranes nga bamaze okuwangulwa Ghana ku fayinolo, nga bonna beenaanise emidaali gya ffeeza mu bulago, baasiba engugu zaabwe okwolekera ekisaawe ky'ennyonyi mu Accra, balinnye badde ku butaka. Ku ssaawa 6:00 ez'ekiro, baalinnya ennyonyi ya Ethiopian Airways eyalina okusooka okuyitira e Lagos (Nigeria) ne Douala (Cameroon) nga tennabatuusa Ntebe.
Ennyonyi ng'eneetera okutuuka e Ntebe, olufu lwali lwa maanyi mu bbanga ekyaleetera omugoba waayo obutalaba bulungi n'alagira abaagirimu bonna okunyweza enkoba kuba yali anaatera okugissa ku ttaka. Mu kukka, ennyonyi yali ku misinde egya yiriyiri ekyaleeta entiisa ku buli eyagirimu era buli omu n'atandika okusaba mu ddiini ye.
Omugoba w'ennyonyi eno yasazaamu eky'okugisuula ku kisaawe ky'e Ntebe n'agyolekeza e Kenya ekiwejjowejjo nga bali ku Jomo Kenyatta International Airport.
Mu kugikebera, kyazuulwa nga yingini yali efunye obuzibu era wadde yakanikibwa, abazannyi ba Cranes beerema okugiddamu okutuusa aba Ethiopian Airways bwe baabafunira endala eyabatuusa e Ntebe. Mu kusooka, abazannyi baasaba baddireyo mu bbaasi ya Akamba.
Bwe batyo aba Cranes bwe baasimattuka okufa era bangi baawulirwa bagamba nti, "Okuddamu okulinnya ennyonyi kkoyi!" kigonyageorge13@gmail.com 0772832149.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...