TOP

Bannabyamizannyo tuleme kusuula nnanga ku corona

Added 25th January 2021

LIIGI z’emizannyo zigenda ziddamu okukwajja era kiraabu nnyingi kati zitendekebwa. Empaka z’Amasaza zo mwattu zaagondedde bulungi amateeka g’ebyobulamu. Ttiimu zaabadde mu nkambi ate nga zasaoose kukeberebwa.





Waliwo n'abatendesi abaafuumuddwa lwa kwemulula ne bagenda okutendeka kiraabu za ‘Super'. Baabadde bakomawo mu nkambi ne bagaanibwa lwa kujeemera mateeka.

Naye ate zo kiraabu mu liigi z'eggwanga teziri mu nkambi! Abazannyi, abakungu ne baddiifiri bava mu maka gaabwe. Twalabye aba kiraabu ezimu nga bafunye corona. Ebyava mu kubakebera baabibawa baakamala okuzannya kiraabu endala. Tetumanyi bameka be baawereba olumbulege!

Nali ku lutimbe, ne ndaba abawagizi nga bali mu miti n'obugulumu obuliraanye ekisaawe ky'e Bugembe. Amateeka g'ebyobulamu gaali gasuuliddwa muguluka. Kati simanyi oba abaddukanya emizannyo bamativu nti tebatadde bulamu bwa bazannyi, abawagizi n'abakungu mu matigga!

Ate nnina okweraliikirira nti amateeka bwe tugakwata ennyo, tujja kwetaaga ssente nnyingi. Era bwe tugalemerako, kiraabu nnyingi zijja kufuuka lukebe.

Kwe kugamba tuli mu mbeera ya ssemusota guli mu ntamu! Kye tuba tunyiikirira, kwe kwekebeza tulabe ng'abalwadde baawulwa ne bajjanjabwa. Era tufune basiponsa b'okwekebeza n'obujjanjabi eri abazannyi, kuba kiraabu zijja kukaluubirizibwa okufuna ensimbi ezeetaagisa.

atamale@newvision.co.ug 0772 419 501

Bannabyamizannyo
tuleme kusuula nnanga ku corona

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...