TOP

Ensonga lwaki evuyaLwaki Liverpool evuya

Added 26th January 2021

KU Ssande, ManU yakubye Liverpool (3-2) n'egiwandula mu FA Cup. Kino kye kimu ku bikopo Klopp bye yabadde asuubira okulemerako oluvannyuma lw'okuseerera mu Premier n'akka mu kyokuna ky'atamanyi oba anaakinyweza.




Nga bakubwa ManU ku Ssande, Liverpool yeefuze omupiira kyokka yamalirizza bagikubye. Ebibalo biraga nti sizoni eno Liverpool eyongeddeko mu kwefuga emipiira bw'ogeraageranya ne sizoni eziyise kyokka emipiira we giggweera nga wiini zibeesambye.

Mu mipiira gye baakakubwa mu Premier sizoni eno, ogwa Southampton baagwefuga ebitundu 67 ku 100, Burnley (ebitundu 71). Ku maliri ga Fulham (bagwefuga ebitundu 75), West Brom (78)ne Newcastle (bagwefuga ebitundu 73). Kinokirese bangi beewuunyalwaki wiini zigaana ate ngattiimu omupiira egwefuga okusinga omulabe waayo.

LWAKI LIVERPOOL EVUYA

Okujja kwa Alcantara; Thiago Alcantara bwe yajja, Jurgen Klopp yalina okufuna sisitiimu mw'agya obulungi. Alcantara mulungi wabula ennono ya Liverpool si ya kuzannya buppaasi bumpi nga bw'akola. Yeeyunira nnyo okukozesa emipiira emiwanvu olwo abateebi ne bayiribya abazibizi b'omulabe. Ebiseera ebisinga kati babimala mu kwefuga mupiira.

Abazannyi bakoowu; Okumala sizoni nnya Liverpool ekozesa abazannyi be bamu kyokka nga bazannyira ku ffoomu y'emu ate ng'omupiira gwa sipiidi. Sizoni eno tebafuna kuwummula kumala era obalaba mu kisaawe ng'amagulu galinga agabazitowa emirundi egimu.

Obuganiriza bwa Klopp; Abazibizi ba Liverpool balwadde naye Klopp agaanyi okugula omuzibizi omulala ne yeesiga bamusaayimuto mpozzi n'okuzza Fabinho (omuwuwuttanyi) mu kisenge wakati.

Okwemalirira kwa Salah; Ttiimu okukola obulungi abazannyi balina kuzannya nga kitole. Emirundi mingi Mo Salah yeemalirira ate n'atateeba sso nga sizoni eziyise ng'ekyoto kyabwe kikolera wamu.

Obutabaawo bw'abazibizi; Kino kiwaliriza Klopp okuzannyisa abawuwuttanyi (Fabinho ne Henderson) mu kisenge wakati kyokka kino kikosa ttiimu kuba ebiseera ebimu bwe balumba Liverpool, basanga abawuwuttanyi bali mu maaso ng'ekisenge kyereere.

Ffoomu ya Trent-Arnold ne Robertson; Bano be bakola asisiti za Liverpool naye sizoni eno ekyabeesambye ng'ate kwe baali bazimbira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...