
Byabadde mu nsiike ya ttiimu zino mu mpaka za ‘Italian Cup' abateebi bombi abaaliko mu ManU bwe baatabuse mu ddakiika eya 45.
Kigambibwa nti Lukaku yavumye Zlatan naye n'amuddiza ng'agasseemu ebigambo ebivvoola nnyina. Kino kyanyiizizza Lukaku n'amulumba bakwatagane kyokka bazannyi banne ne bamukwata.
Bombi baaweereddwa kaadi eza kyenvu kyokka Lukaku ye yafunye essanyu ery'enkomeredde kuba Inter yawangudde 2-1 oluvannyuma lwa Zlatan okuweebwa kaadi emmyuufu.