
Joe Willock 21, yagenze mu Newcastle ate Mait-Land Niles 23, n'asibira mu West Brom nga bombi baagenze ku looni. Omuzibizi Skodran Mustafi 28, yazzeeyo e Girimaani, Schalke bwe yamusasudde pawundi akakadde kamu n'ekitundu. Ono asikidde Ozan Kabak eyazze mu Liverpool.
Arteta yagambye nti Willock ne Niles bajja kuganyulwa nnyo mu ttiimu ezo era asuubira okubakomyawo nga baggumidde.
Ku Mustafi yagambye nti abadde takyalina w'azannya okuva David Luiz, Rob Holding ne Gabriel Malgahaes bwe bamuli waggulu.
Mustafi azannyidde Arsenal emipiira 151 okuva bwe yagulwa pawundi obukadde 35 mu Valencia mu 2016.
By Kato Kawuma | Regional Sports Editor