TOP

Mutebi yeeraliikiridde ogwa Bul FC

Added 12th February 2021

OMUTENDESI wa KCCA FC Mike Mutebi yeeraliikiriddemu ng’agenda okukyaza Bul FC mu liigi ya babinywera e Lugogo.

Mutebi

Mutebi

Leero (Lwakutaano)mu Liigi

Police FC - Kyetume FC, Lugogo

BUL FC - KCCA FC, Jinja

Mbarara City FC - Wakiso Giants FC, Kakyeka

Onduparaka FC - Busoga United FC, Arua

Enkya (Lwamukaaga)

SC Villa - MYDA FC, Bombo

Vipers SC - UPDF FC, Kitende

Soltilo Bright Stars FC - Kitara FC, Kavumba

Sunday
URA FC - Express FC,Bombo

Kino kiddiridde okuba n'abazannyi abalina obuvune okuli;Sadat Anaku, Dominic Ayella, Julius Poloto ne Gift Ali ate kuno kw'ogatta Steven Sserwadda, Sam Ssenyonjo, Joseph Kizza Bukenya, Andrew Kawooya, Joseph Kafumbe ne Musa Ramathan abali ne ttiimu y'abatasussa myaka 20 (Hippos) e Mauritania.

Mutebi agamba nti Bul FC y'emu ku ttiimu ezisinga okuwa KCCA FC akaseera akazibu era asuubira omupiira ogutagenda kuba mwangu naddala ng'abasambi be abasinga tebaliiwo naye yeegumizza nga bw'agenda okulwana okufuna obubonero.

"Tegugenda kuba mupiira mwangu naye KCCA FC ttiimu nene, tugenda kulwana okuggyayo obubonero," Mutebi bwe yeegumizza.

Leero(Lwakutaano) KCCA FC mu kifo ekyokutaano (9)enoonya buwanguzi bwa 5 sizoni eno, ekyalidde Bul FC eyakafunayo wiini emu yokka sizoni eno ng'eyagala yaakubiri okuva mu kifo ekye 12 n'obubonero 4. Bali ku kisaawe kya Kyabazinga e Busoga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...

Maj. Katamba.

Abaazirwanako 200 bagenze S...

EKIBINJA ky’amagye ekisooka e Kakiri kisunsudde abaazi rwanako 200 nga baakutwalibwa e Somalia okwongera okukuuma...

Abamu ku batuuze abaabadde mu kkooti.

Kkooti etandise okuwulira o...

OMULAMUZI Yasin Nyanzi atandise ku nteekateeka y’okuwulira omusango gw’abatuuze b’e Nakawa abaasengulwa ku luguudo...

Bamasheikh bongedde bwiino ...

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta...