TOP

Hippos eyiseemu kavvu

Added 27th February 2021

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000 (288,000,000/-), n'ebasiima okutuuka ku semi z'empaka za Afrika. FUFA era yabasuubiza ssente endala doola 200,000 (740,000,000) ssinga bawangula ekikopo kino mu mpaka eziyindira e Mauritania.

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Bya GERALD KIKULWE                                                                                                                                                                ENKAMBI ya ttiimu y'eggwanga ey'abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000 (288,000,000/-), n'ebasiima okutuuka ku semi z'empaka za Afrika. FUFA era yabasuubiza ssente endala doola 200,000 (740,000,000) ssinga bawangula ekikopo kino mu mpaka eziyindira e Mauritania.

Ku Lwokuna, Hippos yayongedde okuwa Bannayuganda essanyu bwe yawangudde Burkina Faso ggoolo 5-3, eza peneti oluvannyuma lw'omupiira okukomekkerezebwa nga tewali alengedde katimba ka munne. Ne bwe baabongeddemu eddakiika 30, tewali kaakyuseemu, okukkakkana nga bagenze mu bunnya.

Muyaasimuto Jack Komakech 18, ggoolokippa wa Hippos', ye yeetisse olunaku bwe yakutte peneti ya Djiga Yacoub, n'ayisaawo Uganda ku semi, omulundi gw'esoose okwetaba mu mpaka zino. "Abaana abasinga ku ttiimu ya Hippos twatandika nabo liigi y'abatasussa myaka 17 mu 2015.

Omutindo gwe boolesezza mu kikopo kya AFCON kino basaana kusiimibwa okubazzaamu amaanyi, " pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, bwe yategeezza. Abazannyi obubaka bw'essanyu buno baabufunidde ku mutimbagano nga beeyambisa enkola za 'zoom'.

Hippos yaakuttunka n'eyayiseewo ku Morocco ne Tunisia abaazannye ku Lwokutaano. Hippos era ebadde efunye omukisa okuzannya World Cup omulundi ogusookedde ddala, wabula yasaziddwaamu olwa corona. Empaka zibadde zaakubeera mu Indonesia wakati wa May 20 ne June 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...