TOP

Bassita ba Leicester bamenye amateeka ga corona

Added 12th April 2021

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe yabadde ebawangula ggoolo 3-2 ku Ssande.

Aba Leicester bagamba nti abazannyi bano okuli; James Maddison, Hamza Choudhury, Ayoze Perez ne Harvey Barnes baatyobodde amateeka ga corona kye baavudde basuulibwa.

Barnes yabadde mulwadde era yabadde tasuubirwa kuzannya mupiira gwa West Ham kyokka kino tekyalobedde mutendesi Brendan Rodgers kumukangavvula.

Omwogezi wa Leicester yafulumizza ekiwandiiko ku nneeyisa y'abazannyi bano n'agamba nti kyabamazeemu amaanyi kuba babalaba nga basiniya abamanyi eky'okukola kyokka ate be baalaze ekifaananyi ekibi.

Bano omutendesi yabakangavudde ng'abakuba engassi era abazannyi beemenye ne bawandiika okwetonda kwabwe.

Leicester eri mu kyakusatu mu Premier ku bubonero 56 kyokka erina okwerwanako bw'eba yaakumalira mu bifo ebina ebisooka kuba Chelsea ne Liverpool zandigiriivula okuva mu kifo kino.

Chelsea yaakutaano ku bubonero 54 ate Liverpool yaamukaaga ku 52.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...