TOP

Omuzibizi wa Arsenal eyafuna obuvune akomawo sizoni ejja

Added 12th April 2021

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti omuzannyi ono w’anaddira nga sizoni eweddeko.

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti omuzannyi ono w'anaddira nga sizoni eweddeko.

Omuzibizi ono enzaalwa y'e Scotland, y'omu ku basinze okuyamba Arsenal kyokka obuvune bumusumbuwa ekisusse. Gye buvuddeko, yafuna obuvune bwe yaweekuka ekibegabega ekyamumaza ku ndiri ebbanga eriwera.

Arsenal yawangudde Sheffield United ggoolo 3-0 ku Ssande era mu nnamba ssatu, Granit Xhaka ye yazannyeeyo.

Gye buvuddeko, Arteta abadde ku puleesa olw'abawagizi ababadde bamutadde ku nninga olwa ttiimu okuvumbeera mu mipiira egimu.

Mu gwa Europa, Arsenal yalemaganye ne Slavia Praha ggoolo 1-1, ekyanyiizizza abawagizi era abamu ne bagamba nti, "Arteta atuviire…"

Obuwanguzi Arsenal bwe yafunye bwagitutte mu kifo kyamwenda ku bubonero 45 mu mipiira 31.

Ku Lwokuna, bagenda kudding'ana ne Slavia Praha, omupiira gwe balina okuwangula bwe baba baakwesogga semi za Europa. Mu gwasoose, baalemaganye ggoolo 1-1.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...