TOP

Eyaddidde Mourinho mu bigere atandise na maanyi mu Premier

Added 22nd April 2021

OMUTENDESI wa Spurs ow’ekiseera, Ryan Mason yatandise na maanyi emirimu gye ttiimu ye bwe yawangudde Southampton ggoolo 2-1 mu gwa Premier.

Mason abadde omuzannyi wa Spurs, yazze mu bigere bya Jose Mourinho eyakwatiddwa ku nkoona ku Mmande.

Obuwanguzi bwa Spurs buno bwajjidde mu kaseera nga beetegekera okwambalagana ne Man City ku Ssande ku fayinolo ya Carabao Cup.

Spurs yazze mu nsiike eno nga waliwo abaginyooma olw'okuba omutendesi agitendeka kati akyali muto kuba wa myaka 29 wabula omutindo gwe yalaze, gwasirisizza ababanyooma.

Gareth Bale ne Son Heung-min be baateebedde Spurs sso nga Danny Ings ye yasoose okuteebera Southampton.

Oluvannyuma lwa fayinolo, Spurs yaakuzzaako Sheffield United omupiira Mason nagwo gw'ayagala okuwangula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...