TOP

FUFA ekalize abazannyi ba Mbale Heroes

Added 22nd April 2021

AKAKIIKO akakwasisa empisa mu ‘FUFA’ ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga, katanzizza ttiimu ya Mbale Heroes mu Big League emitwalo 50 n’abasambi baabwe babiri okusubwa emipiira gya sizoni ebiri nga tebazannya.

Leero(Lwakuna) mu Big League

Mabale Heroes - Blacks Power, Mbale

Terrazzo and Tiles - Kigezi Home Boys

Arua Hill - Gadafi, Arua

Calvary - Paidha B.A, Arua

Luwero United - Tooro Utd, Kasana

Proline - Ndejje University, Lugogo

Nyamityobora - Water, Kakyeka.

Kino kiddiridde abasambi ba Mbale Heroes abaakaligiddwa okuli; Brian Olega ne Joel Ayella okuwakula olutalo ku ddifiri Richard Kimbowa eyali mu mitambo gy'omupiira nga Arua Hills FC ekola amaliri (1-1) ne Mbale Heroes ku kisaawe kya Mbale Municipal Stadium (April 15, 2021).

Mu mupiira guno Mbale Heroes yakulembera(1-0) okumala eddakiika 72 wabula mu y'e 73, Arua Hill yafuna ggoolo ey'ekyenkanyi eyavaako olutalo ng'abannyi ba Mbale bawakanya ‘Free kick' ddifiri gye yagaba n'evaamu ggoolo mu ddakiika ey'e 73 ekyawaliriza n'abawagizi okuyingira ekisaawe.

Omuzannyo gwamala eddakiika 8 nga guyimiridde ekyawaliriza Poliisi okubyetabamu okukakkanya embeera omupiira ne guddamu okuzannyibwa.

Deo Mutabazi akulira akakiiko akakwasisa empisa mu ‘FUFA' agamba nti okusinziira ku ebbaluwa ya ddifiri, n'obutambi obwakwatibwa, abazannyi Brian Olega, Joel Ayella ne Jamaldine Karenzi be baatandika olutalo, ekiwaliriza abawagizi okwesogga ekisaawe n'okwagala okukuba abakungu ba Arua Hill.

"Bano tubakalize emipiira ebiri nga tebasamba, ttiimu ya Mbale Heroes yaakutanzibwa emitwalo 50, ekirala baddifiri b'agaanibwa okuyingira akasenge gye bambalira era baakyusiza bweru ekitali kikolwa kirungi," Mutabazi bwe yawadiise.

Chris Omonyi akulira emirimu mu ttiimu ya Mbale Heroes awakanyizza okusalawo kwa ‘FUFA' kuba tewali katambi kalaga nti abasambi baabwe baalwanye oba okubaako gwe batusaako ekisago.

"Ddifiri yalimbye, ekibonerezo ky'abadde tekisaanira, obutakkaanya ku kisaawe bubeerawo. Naye tetufuddeyo ekibonerezo kijja kuggwaako naye ‘FUFA' eyogereko ne baddifiri baabwe kuba omutindo gwabwe gwa kiboggwe," Omonyi bwe yategeezezza.

Brian Olega ne Joel Ayella baakusubwa omupiira gwa leero nga Mbale Heroes ezannya Blacks Power n'ogwa Kataka ku Ssande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...