TOP

Ab'emmotoka beebugira mpaka z'e Kenya

Added 22nd April 2021

BANNAYUGANDA abavuzi b’emmotoka z’empaka 8 bawera okukamula entuuyo baddereeva b’amawanga amalala mu mpaka za 2021 FIA ARC Equator Rally e Kenya.

Enkya (Lwakutaano okutuuka ku Ssande) emmotoka ezisukka mu 15 zaakwetoloola ebibuga bibiri okuli; Naivasha ne Nakuru e Kenya mu mpaka z'okulwanira obubonero ku ngule y'Afrika(African Rally Championship).

Yassin Nasser kyampiyoni w'engule y'eggwanga(NRC) sizoni ewedde, oluvannyuma lw'okulemererwa okwetaba mu mpaka z'eggwanga bbiri (Mbarara ne Ssembabule) sizoni eno agamba nti amaanyi ayagala kugateeka ku kukung'aanya bubonero ku ngule y'Afrika(ARC).

" Guno mulundi gwa kusatu nga neetaba mu mpaka zino (2017,2018 ne 2019), omulundi ogusembyeyo nakwata kifo kya 9. Kino kitegeeza obumanyirivu mbulina era y'ensonga lwaki ssaavuze Ssembabule kuba neekengedde nti emmotoka yange eyinza okufunirayo obuzibu nensubwa eza ARC,"  Nasser bwe yaweze.

Rajiv (2)

Rajiv Ruperalia oluvannyuma lw'okulemererwa okumalako empaka zonna essatu ku ngule ya NRC sizoni eno (Mbarara, Jinja ne Ssembabule), agamba nti ayagala kweggyako kifiini ekimuttira emmotoka ye mu buli mpaka n'atamalaako.

"Guno gwe mulundi gwange ogusooka okwetaba mu mpaka zino, njagala kutega wano na wali, ssinga nnemererwa okufuna obubonero ku ngule y'eggwanga, waakiri naakung'aanyayo ku y'Afrika nga bwe nnyongera okufuna obumanyirivu," Rajiv bwe yategeezezza.

Duncan Mubiru Kikankane eyaakawangula empaka za Bwera Bistro SMC Challenge Rally ezaabadde e Ssembabule agamba nti guno gwe mukisa gw'alina okutunda erinnya lye ku lukalu olw'Afrika ng'ateekawo okuvuganya mu ku bubonero bwa ‘ARC Equator Rally'.

Bannayuganda abalala abeetabyemu

Ronald Ssebuguzi/Anthony Mugambwa, Kepher Walubi/Asuman Mohammed, Jas Mangat/Joseph Kamya, Hassan Alwi ne Amanaraj Singh Ral.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...