Ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu nsi yonna ekya International Weightlifting Federation (IWF) kifulumizza amannya g’abazannyi be kikakasizza okwetabamu wabula nga Ssekitooleko asuuliddwa.
Ekibiina kya kimu ekyayita Ssekitooleko okugenda e Japan okwetaba mu kutendekebwa nga bwe kisunsula abazannyi n’okusala ku muwendo wabula ne kimaliriza nga kimusudde.
“Aba IWF be baayita Ssekitooleko okugenda mu kwetegekera Olympics. Twali tusuubira IWF okulonda abazannyi 14 okuva mu nsi 14 eza Africa naye batutteko 7. Wabula ekirungi nti okutendekebwa Ssekitooleko kw’abaddemu kujja kumuyamba okuvuganya obulungi mu mizannyo gya Commonwealth Games e Birmingham omwaka ogujja,” pulezidenti wa Uganda Weightlifting Federation (UWF) Salim Musoke bw’ategeezezza.
Akulira ekibinja kya Uganda mu Olympics, Beatrice Ayikoru akakasizza nti abategesi bamuwadde amannya g’abazannyi abasuubirwa mu bisulo 25 nga kuliko abaddusi 19, abakubi b’ebikonde basatu, abawuzi babiri n’ow’amaato omu.
Yali agenze n’omutendesi we Hakim Ssempeereza.
Emizannyo gitandika July 23 giggwe nga August 8 mu Tokyo.