Bya CHARLES LWANGA
Uganda 34 Zimbabwe 3
Nga uganda yakamala okusiimuliza ku Zimbabwe ebitoomi
wiiki ewedde, yazzeemu n'ejifuffugaza 34:3 mu kusunsulamu abanetaba mu mpaka za afririka eza Rugby mu bakyala
Omuzannyo guno gw'abaddewo ku Sunday ku kisaawe kya kyadondo Rugby grounds.
Faith Namugga yeyalondedwa nga eyasinze okulaga omutindo omulunji mumuzanyo kulunaku.
Ela nga mumuzanyo ogwasooka, abagenyi(Zimbabwe) batandise n'amaanyi naye uganda yalaze amaanyi nga tekKiliza kuteebebwa era ekisenge kyabadde mpagi luwaga.
Peace Lekuru era nga bweyakikola mu muzanyo ogwasooka, yakoze ekimusuubilwaamu bweyateebye goolo bbiri ng'ate Charlotte Mudoola yateebye penati ela nakola nemikisa ebiri omwavudde goolo okufuula omuzanyo 17-0 ekitundu ekisooka wekyagwereddeko.
Mukitundu ekyokubiri, Emily Lekuru ne Faith Namugga bateebye ggoolo buli omu nga Mudoola tanakola mikisa ebiri omwavude goolo ne penati emu okutwaala uganda ku goolo 34-0.
Abagenyi (Zimbabwe) balwaanye nyo nebafunayo penati emu okumaliliza omuzanyo goolo 34-3 mubuwanguzi bwa uganda.
Leonard Lubambula omutendesi wa tiimu ya uganda yawadeyo obuwanguzi eli okukolela awamu kwabazanti nokubeela mumbeela enunji(conditioning of players)
“abazanyi bange babade mu mbeera nunji ela kino kyabasobozeseza okuba nobusobozi bwokwekuumila kukisaawe okumala edakiika 80.”
Tiimu kati elinda mwaka gujja okwetaba mumpaka za afirika eza rugby nezokusunsulamu abaneetaba muzensiyonna.