Bya Farouk Lubega
ARSENAL eyolekedde okumegga Spurs ekanse omuteebi wa Chelsea, Tammy Abraham ng’akatale kano tekannaggwaako.
Omukutu gw’amawulire ogwa ‘The Sun’ gwategeezezza nti Chelsea yakkirizza okusooka okusindika omuzannyi ono ku bbanja mu Arsenal nga mu ndagaano ye bataddemu akawaayiro k’okumugulira ddala.
Singa Arsenal ekansa omuzannyi ono, lijja kuba kkonde ddene eri Spurs enoonya omuteebi anaasikira Harry Kane eyategeezezza bakama be nti ayagala kwabulira ttiimu eno. West Ham nayo eyagala omuzannyi y’omu.
Abraham afuna emitwalo gya pawundi 8 buli wiiki era singa batunda Abraham, baakufuna we batandikira ku ssente ze banaasasula omuteebi omupya gwe baleeta.
Chelsea eri ku muyiggo gwa muteebi mulala era kyategeezeddwa nti bataddewo obukadde bwa pawundi 135 okukula omuteebi wa Dortmund, Erling Braut Haaland.