Bya GERALD KIKULWE
MANGU ddala nga yaakamala okuweebwa omulimu gw’okutendeka ttiimu y’eggwanga eya ‘Volleyball’ abasajja ( Volleyball Cranes), Shilla Omuriwe Buyondo ayise ttiimu ya bazannyi 18 okutandika okutendekebwa nga beetegekera ez’Afrika.
Ono alonze George Aporu omuzannyi wa Nemostars mu liigi ya babinywera ku bwa kapiteeni bw’eyeggwanga, waakumyukibwa Daudi Okello azannya 'ppulo' mu Hyundai Skywalkers eya Korea.
“Twagala kuyingira nkambi nga bukyali olw’okwetangira n’okukendeeza ku katyabaga k’ekirwadde kya Corona ekitabuse mu ggwanga, era nzikiriza mu wiiki emu okuva kati tujja kuba tufunye wooteeri gye tugenda okusiisira,” Omuriwe bwe yakakasizza.
Empaka zino era zigenda kukola ng’ezokusunsulamu abaneetaba mu ‘World Cup’ wa Volleyball omwaka ogujja.
Ttiimu eyayitiddwa
Moses Odeke, Emma Elanyu, Bernard Malinga, George Aporu, Smith Okumu ne Jonathan Tumukunde(aba Nemostars), Brian Atuhaire, Dickens Otim, Johnson Rukundo ne Marino Oboke(aba Sport’S), Allan Ejiet Olokotum(KAVC), Sam Egwau(VVC), Sharif Nabanji (OBB), Nathan Okare Edulu ((OBB), Emmanuel Okia (Ndejje), Daudi Okello(Korea), Ivan Ongom(OBB), Gideon Angiro(KCCA).
Abakungu
Shhila Omuriwe Buyondo (Mutendesi), Luke Einstein Eittit (mumyuka), Nason Bwesigye (byakikugu), Ahmed Kigundu(Maneja) ne Chris Womukota(Muwandiisi).