Ebyemizannyo

Tukuleetedde Andy Mwesigwa eyali ssita wa Uganda Cranes ng'atubuulira gye yabulira ne byakola

NGA Uganda yeetegekera okujaguza Ameefuga ag'emyaka 59 nga 9 October,MOSES KIGONGO akuleetedde abamu ku Bannabyamizannyo abeetongodde mu mizannyo nga bayita mu kwetandikirawo pulojekiti z'emizannyo ezirina kye zigatta ku ggwanga.

Tukuleetedde Andy Mwesigwa eyali ssita wa Uganda Cranes ng'atubuulira gye yabulira ne byakola
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Moses Kigongo

NGA Uganda yeetegekera okujaguza Ameefuga ag'emyaka 59 nga 9 October,MOSES KIGONGO akuleetedde abamu ku Bannabyamizannyo abeetongodde mu mizannyo nga bayita mu kwetandikirawo pulojekiti z'emizannyo ezirina kye zigatta ku ggwanga.

Eyaliko kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga(Cranes) era nga yazannyako omupiira gw'ensimbi ebweru w'eggwanga Andy Mwesigwa  mukiseera ky'omugalo kino  atandise okulima n'okukola emirimu egyenjawulo omuli okukuba bulooka n'okutendeka bamusaayimuto  ku ssomero lye eriyitibwa  "Andy Mwesigwa Comprehensive High School" e Wakiso.

Mwe 8(2)

Mwe 8(2)

Omusasi wa Bukedde Online Moses Kigongo yamuguddeko ku Lwokubiri emisana era emboozi ye yaginyumiza bwati;

Omuntu aneetaaga mukiseera kino(eky'omuggalo) alina kunsanga ku ssomero lyange kubanga gy'ensiiba ng'ankola emirimu gyange omuli; okuzimba, okulima n'okulunda wamu n'okutendeka abamu ku bazannyi ba ttiimu yange ey'essomero nga bwetulinda gavumenti okuddamu okutuggulirawo amassomero.

EBIMUWALIRIZA OKUSIIBA KU SSOMERO;
Omuggalo kye kimu ku bintu ebisinze okumpaliriza okusiiba ku ssomero lyange kubanga sikyalina bintu biralala byenkola olw'omuggalo gwe tuliko n'okweewala okusasanya ekirwadde kya COVID-19.

Mwe 9

Mwe 9

Okwaagala okuyoyota n'okutegekera abayizi bange ekifo kino bakisange nga kiri mumbeera nnungi we banakomerawo. Era kino kye kinkozesa emirimu egyenjawulo omuli; okukuba bulooka, okusimba enva endiirwa mu lugya lw'essomero n'okukima amazzi geneeyambisa okufukirira ebirime byange bye banalya nga bakomyeewo .

Nina n'okusoomozebwa kw'ensimbi kubanga essomero terikyayingiza ssente  oluvanyuma  lwa gavumenti okusindika abayizi baffe ewaka.Era kino olusi kye kimpaliriza okweekwatira mu mirimu egimu gye nandibadde nsasanyizaako ssente ku bakozi b'essomero lino.

Ensonga ezaamusikiriza okutandikawo pulejokiti y'essomero ne akademi;
Nazaaalibwa mu family y'abazadde abayivu kubanga kitange Vicent Muyego ye yali akulira eby'emizannyo mu balakisi ye Jinja(nga tanawumula magye),ate maama  Racheal Catherine Namuwaya yali musawo(Nurse).Era twaakula batukubiriza okusoma nga bagamba nti ly'elimu ku makubo agagenda okutuyamba okubeera obulungi mu bulamu bwaffe obw'omumaaso.

Mwe 10

Mwe 10


Embeera eno ye yansikiriza okutandikawo essomero mu 2018 oluvanyuma lw'okunyuka omupiira ng'anfunye ssente mu myakka 11 gye namala ng'anguzannya.
EBIGENDERERWA BYE;
Okuzimba ebitone n'okuteekateeka abazannyi abanalikiriza Cranes ne liigi y'egwanga lyaffe mubiseera eby'omu maaso.

-Okuzimba ekifo awanatekerwateekerwa abavubuka ne bamusaayimuto b'eggwanga lyaffe mu bitone ebyenjawulo okuli; eby'emizannyo n'ebiralala ng'okuyimba,okuzina n'okukola emirimu egy'omu mutwe eginabayamba okwebeezawo mubiseera byabwe eby'omu maaso.
OBUBAKA ERI BANABYAMIZANNYO;

 Banabyamizannyo balina okukola ennyo n'okubeera n'empisa okusobola okuwangaalira mu bulamu obupya obuli ebweru w'ekisaawe.

Ekiralala bateekewo ebintu ebinawangaala (investments) kubanga ekiseera kigenda kutuuka  obulamu bw'okuzannya emizannyo bugweeko nga betaaga ebintu ebyo okusobola okweyimirizaawo mu bulamu obw'omu maaso.

Mwe 13

Mwe 13

MWESIGWA YANI?
Yazaalibwa  Vicent Muyego ne Racheal Namuwaya nga 24th April  1984 e Jinja.
Okusoma yakutandikira mu Victoria Nile(gye yasomera Nursery,ate P.7 nagisomera ku ku St.Gonzaga e Jinja. 

S.4 nagituulira ku Light Arcademy e Bulenga ,ate  S.6 nagimalira ku St.Joseph e Nagalama. Oluvanyuma yakola dipuloma mu by'okuddukanya bizinensi (Business Adminstration and Management) ku Bathel Training Institute e Jinja.

Omupiira yagutandikira Jinja mu akademi ya Aldinane ne Randon.Oluvanyuma neyeegatta ku Busia United mu 1999 gye yava okweegatta ku Nile FC mu 2000.
Yagenda mu Mbale Hereos mu 2001 paka mu 2002,olwo neyeegatta ku SC. Villa mu 2003 okutuusa mu 2006 lwe yatandika okuzannya omupiira gw'ensimbi mu IBV okutuusa mu 2009.

Sig 1

Sig 1

Yeeyongerayo mu China gye yeegatira ku Chonquin mu 2010 gye yava okudda mu Ordabasey FC (eye Karzarkstan) okutuusa mu 2014. Oluvanyuma yagenda e Cyprus gye yeegatira ku Yenica mu 2015 , gye yava okuddayo eChina mu Sygon mu 2016 okutuusa mu 2017 lwe yanyuka omupiira.

Cranes agizanyidde emyakka 12 (okuva mu 2003 okutuusa mu 2017) lwe yanyuse  omupiira gwa ttiimu y'eggwanga.

Tags: