OMUTENDESI wa Vipers omuggya Robert Oliveira agambye nti tebagenda kunyooma BUL FC ku fayinolo z’empaka za Stanbic Uganda Cup ezigenda okutojjera ku Ssande e Jinja.
Oliveira agamba nti buli mupiira bagenda kuguzannya nga fayinolo kuba ayagala kuwangula kikopo kye kisooka mu myezi ebiri gye yaakamala ku ttiimu eno.
Ku Lwokubiri, Vipers yamezze Police 2-0 ezaatebeddwa Ceaser Manzoki ku luzannya lwa Semi ne beesogga fayinolo.