Kiddiridde Kyaggwe okumalako emipiira gyayo 7 egy'okwegera nga tekubiddwaamu. Ku mipiira 7 Kyaggwe yawanguddeko 6 n'okulemagana gumu nga yasembye kukuba Kalagi FC 2-1 olwo yeetegekere okugenda ku Njeru Technical Centre ku Lwokusatu lwa wiiki eno ewabumbujjira empaka zino.

Omuteebi wa Kalagi FC ng'atagaza abazibizi ba ttiimu y'essza lye Kyaggwe.E
Omwami wa Kabaka ow'essaza lino Sekiboobo Elijah Lubanga Mulembya yakuutidde bannaKyaggwe okuwagira essaza lyabwe naddala mu by'ensimbi ezibeekubya empi.

Abamu ku bazannyi ba ttiimu y'essaza eya Kyagwe.