Ebyemizannyo

Eyakiikiridde Uganda mu Olympics w’okuvulumula amaato waakubangula banne

MUNNAYUGANDA omuvulumuzi w’amaato Kathleen Grace Noble waakubangula abazannyi ab’enjawulo ku ngeri gye bagenda okwongera omutindo n’okuvuganya mu muzannyo guno naddala ku mutendera gw’ensi yonna.

Eyakiikiridde Uganda mu Olympics w’okuvulumula amaato waakubangula banne
By: Fred Kisekka, Journalist @New Vision

Noble, omukyaala eyasoose okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Olympics mu kuvulumula amaato  n’ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ekya ‘Uganda Rowing Federation’ baakubangula abavulumuzi b’amaato ku Lwomukaaga luno January nga 29.

Grace lwe yavuga amaato mu 2020

Grace lwe yavuga amaato mu 2020

Yakiikiridde Uganda mu mizannyo egyabadde e Japan gye yamalidde mu kifo ekya 5 mu nzannya ya ‘free style’ mmita 2000 nga mu Afrika yakutte kya kubiri.

Omusomo guno gwakubeera ku Kisubi Beach Entebbe nga kkiraabu ez’enjawulo n’abavuzi abasoba mu 200 be basuubiirwa okugwetabamu.

Bw'afaanana

Bw'afaanana

Batenga Nakisozi akulira eby’ekikugu mu Uganda Rowing Federation yagambye nti baluubiridde kwongera kutereeza muzannyo gwabwe gusobole okuwangulira Uganda emidaali mu mpaka ez’omuzinzi okuli emizannyo gya Olympics, Commonwealth n’egya Afrika.

Tags:
Ebyemizannyo
Amaato