Ono yatadde omukono ku ndagaano ya mwaka gumu ng’ava mu kiraabu ya Isra Soccer Academy ezannyira mu kibinja eky’okubiri ekya FUFA Women Elite League.
Nalugya azannyira ku ttiimu z’eggwanga ez’enjawulo okuli ey’abatasussa myaka 20 eri mu kwetegekera okuttunka ne Ghana mu mupiira gw’okudiggana ne Crested Cranes enkulu.
Nalugya abadde ku bwazike mu kiraabu ya Kawempe Muslim Ladies FC okumala sizoni bbiri.
Ono yeegasse ku bazannyi bana abaakagulibwa sizoni eno okuli; Zaitun Namaganda, Sasha Nalubwama okuva ku Taggy High School.
Liigi y’abawala eya FUFA Women Super League esuubirwa okutandika ku Lwokutaano wakati wa Rines SS WFC abaakasomosebwa mu liigi nga battunka ne Tooro Queens FC.
Kinajjukirwa nti, Lady Doves okuva e Masindi be bannantameggwa ba liigi eno gye baawangulira e Njeru omwaka oguwedde.