Ebyemizannyo

Andy Mwesigwa abuuliridde abazannyi ba URA

EYALIKO kapiteeni wa Cranes Andrew Mwesigwa abuuliridde abazannyi ba URA FC engeri gye bakolamu ssente saako n’okubaawo mu bulamu bw’ensi nga tebakyazannya mupiira n’okukolerera okuzannya pulo ng’ekirooto ky’abazannyi abasinga bwekiri. 

Mwesigwa ng'abuulirira abazannyi
By: Ismail Mulangwa, Journalist @New Vision

Bino byabadde ku kisaawe ky’e Gayaza ku Homes Darren mu maka ga URA gy’etendekebwa nga Mwesigwa ababuulirira engeri gye bayinza okubaawo singa babeera bavudde ku mupiira kuba ensangi zino omuntu alina okuba omuyiiya. 

Mwesigwa yakalaatidde abazannyi bano nti singa baba bavudde ku mupiira omusaala gwabwe bagubalirire bulungi okusobola okwebezaawo ne bataba basabirizi ku nguudo oba okutuukirira abantu sekinnoomu ate nga baakola mu buvubuka bwabwe wabula ne bataganyulwamu nga bakuliridde. 

“Omuntu yenna ayagala okuzannya 'pulo' alina okugondera amateeka g’omutendesi saako n’okukola ennyo okulaba ng’awangula emitima gy’abawagizi n’abazannyi era ekyo kye kyatufuula abazannyi ab’enjawulo,” Mwesigwa bwe yategeezezza. 

Yagasseeko nti ye ng’omuzannyi ku pulo, yazannyanga eddakiika 90 okuggyako ng’alwadde era ye tajjukirangako lunaku lwe yali atudde oba obutazannya mupiira gwonna. 

Mwesigwa abazannyi yabagambye nti ssente yaabwe bakigwate bulungi basobole okweyagala mu bulamu bwensi obw’omu maaso nga bagikozeemu ebintu ebyegasa. 

Ono yazannyirako SC Villa SC (2002–2005), ÍBV (2006–2009), Chongqing Lifan (2010), Ordabasy 2011–2014), Yenicami Ağdelen, 13 (2015–2016) ne Sài Gòn mu 2016 era alina ebintu eby’enjawulo nga essomero e Wakiso saako n’amayumba agapangisibwa. 

Tags:
URA
Andy Mwesigwa