Djokovic ayomba lwa bazannyi b'e Russia n'e Belarus kugobwa mu za Wembledon

Russia ng’eyambibwako Belarus okuggula olutalo ku Ukraine mu February. Omwezi oguwedde abategesi b’eza Wimbledon baatuula ne bakkiriziganya nti teri muzannyi w’e Russia ne Belarus waakukkirizibwa kuzeetabamu nga kino nnamba 1 w'ensi yonna mu ttena Novak Djokovic akivumiridde. 

Djokovic
By Nicholas Kalyango
Journalists @New Vision
#wimbledon #Djokovic #Tennis #ATP #ttena

KAFULU wa ttena Novak Djokovic alumbye abategesi b’empaka za Wimbledon olw’okusalawo kwe baakoze okukaliga abazannyi bonna enzaalwa z’e Russia ne Belarus.  

Djokovic n'ekikopo kya Wembledon

Djokovic n'ekikopo kya Wembledon

Bwe yabadde addamu ekibuuzo kya munnamawulire oluvannyuma lw’okuwangula lawundi y’oluzannya lwe olwasoose mu mpaka za ‘French Open’ ku Mmande, Djokovic agenda kulwana okweddiza eza Wimbledon yasabye baggye ekkoligo lye zaateeka ku bazannyi abava e Russia ne Belarus.  Yasabye abategesi b’eza Wimbledon okwekuba mu kifuba. Empaka za Wimbledon, zaakubeerawo nga June 27 okutuuka nga July 10. 

Omurussia Daniil Medvedev

Omurussia Daniil Medvedev

Okuwera bano, kyava ku Russia ng’eyambibwako Belarus okuggula olutalo ku Ukraine mu February. Omwezi oguwedde abategesi b’eza Wimbledon baatuula ne bakkiriziganya nti teri muzannyi w’e Russia ne Belarus waakukkirizibwa kuzeetabamu. 

Djokovic, awagidde n'eky’ekibiina ekitwala omuzannyo guno (ATP men's tour) okugaana okugaba obubonero eri abo abagenda okwetaba mu mpaka za Wimbledon n’agamba nti, “Wadde kinkosa mu kwenywereza mu kifo ekisooka, tekigasa kuwa betabye mu mpaka zino bubonero ate ng’abalala baaganibwa buganibwa okuzeetabamu.”