Aba Ex International balaze work

Abaaliko abazannyi ba Cranes balaze nti akapiira kaabasigalamu bwe bawangudde ttiimu ennonde ey’abaaliko abayizi ba St. Mary’s College Kisubi ggoolo 2-0 bwe baasambye ogw’omukwano ku kisaawe kya Legends e Lugogo.Ex-International Soccer Legends yabadde eyitiddwa nga ngenyi mu mpaka zino ezizannyibwa buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.

Aba Ex International balaze work
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Abaaliko abazannyi ba Cranes balaze nti akapiira kaabasigalamu bwe bawangudde ttiimu ennonde ey’abaaliko abayizi ba St. Mary’s College Kisubi ggoolo 2-0 bwe baasambye ogw’omukwano ku kisaawe kya Legends e Lugogo.

Ex-International Soccer Legends yabadde eyitiddwa nga ngenyi mu mpaka zino ezizannyibwa buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.

Bino byabadde mu mpaka z’abaaliko abayizi b’essomero eryo eza buli mwaka nga luno lwabadde oluzannya Olwomunaana kw’ezo e 19 ze bagenda okusamba omwaka guno.

Leg 8

Leg 8

Ttiimu Soccer Legends eyabadde eduumirwa, George Ssimwogerere yabaddemu abazannyi nga Godffrey Kateregga, Joseph Mutyaba, Idd Batambuze, Godfrey Mukiibi, Geoffrey Sserunkuma, Abubaker Tabula n’abalala.

Ggoolo zaateebeddwa Joram Katende ne Joseph Ssemanda.

Kapiteeni wa Ex- International Soccer Legends, Ssimwogerere ategeezezza nti batandise kaweefube omuggya okukwanaganya abaaliko abazambi mu ttiimu z’eggwanga ne bawummula nga baagala FUFA etandike okubawa ensimbi okuyimirizaawo obulamu mu mizannyo.

Leg 3

Leg 3

Wakati mu mpaka ezeetabiddwamu ttiimu 20, ab’eddwaliro lya Uganda Heart Institute (UHI) abajjanjaba emitima baabaddewo ne bakebera n’omuwa amagezi abantu abaabadde beetaaga okumanya emitina gyabwe bwe giyimiridde mu bulamu.

Abantu abasoba mu 300 be baakebereddwa emitima n’okuweebwa amagezi okwetala endwadde.

Anna Noela Oketayot akulira okujjanjaba emitima mu ddwaliro lya Uganda Heart Institute yakubirizza abantu okwettanira okukeberwanga emitima buli kiseera.

Leg 8

Leg 8

“Abantu abamu abatono mu sayizi balowooza nti tebasobola kulwala mitima, ekirali kituufu,” Oketayot bwe yategeezezza.

Aba SMACK okutegeka okukebera emitima baabadde bajjukira munnaabwe John Francis Barenzi eyafa ekirwadde kino gye buvuddeko.