Abasibi b'emifumbi 6 bawunya lugendo lw'e Canada

Jun 09, 2022

Omutindo gw'abazannyi baffe mulungi era tulina essuubi okukola obulungi mu mpaka zino era basuubira okwesogga ez'ensi yonna.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAZANNYI 6 abasiba emifumbi baakukikirira Uganda mu mpaka za ‘2022 Canadian International Body Building Championship’.

Empaka zino zaakuyindira mu kibuga Vancouver e Canada omwezi guno June 17 ne 18 nga ze zisunsula abaneetaba mu z’ensi yonna eza Mr Universe ezaawangulwako Munnayuganda Ivan Byekwaso mu 2015.

Uganda yaakukirirwa abazannyi 6 mu mpaka zino okuli; John Kalitwa eyawangudde empaka za Mr. Uganda omwaka oguwedde, Godfrey Ssekyanzi, Martin Baguli n’abalala.

Kent Arereng omwogezi w’ekibiina kya Uganda Body Building and Fitness Association ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga yagambye nti ekibiina bamativu n’omutindo gw’abazannyi bonna abali ku ttiimu era balina embavu okuyitamu okwesogga ez’ensi yonna kuba obumanyirivu babulina.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});