Beebugira misinde gya ggwanga

Okusinziira ku pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation, Dominic Otucet, emisinde gino gyakuyamba abaddusi abaayitawo okukiika mu misinde gy’ensi yonna (World Atletics Championships) wamu n’emizannyo gya Commonwealth okwongera okwetegeka obulungi.

Abaddusi nga bavuganya e Namboole
By Olivia Nakate
Journalists @New Vision
#UAF #misinde #Otuchet

Abaddusi 200 bebasuubirwa okwetaba mu misinde gy’eggwanga egya National Track and Field Championships egy’okubeera e Namboole ku Lwomukaaga.

Emisinde gino gyetabwamu kiraabu za Uganda ez’enjawulo ng’omuwanguzi mu mitendera egy’enjawulo waakusitukira kavvu.

Racheal Chebet Zena owookubiri ku ddyo ng'avuganya mu mmita 10,000

Racheal Chebet Zena owookubiri ku ddyo ng'avuganya mu mmita 10,000

Okusinziira ku pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation, Dominic Otucet, emisinde gino gyakuyamba abaddusi abaayitawo okukiika mu misinde gy’ensi yonna (World Atletics Championships) wamu n’emizannyo gya Commonwealth okwongera okwetegeka obulungi.

Emisinde gy’ensi yonna gyakubaawo nga July 15- 24 mu Oregon ekya Amerika ate egya Commonwealth gyakubaawo July 28 – August 8 mu Birmingham ekya Bungereza.