Mu mizannyo gya Commonwealth w’omwaka guno egy’okubeera mu Birmingham ekya Bungereza okuva nga July 28, okutuuka nga August 8. Uganda yaakukiikirirwa abaddusi 18 bokka olw’ebbula lya ssente. Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation (UAF) kigamba nti omuwendo guno gusse nnyo bw’ogeraageranya n’abaddusi 23 abaakiika mu mizannyo gya Commonwealth ya 2018 mu Gold Coast ekya Australia.
Dominic Otucet, pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu ggwanga agamba nti abaddusi 45 be baali bayiseewo okukiika mu mizannyo gya gino kyokka baawalirizibwa okusala ku muwendo guno olw’ebbula ly’ensimbi.
Otucet, pulezidenti w'ekibiina ky'emisinde.
Otucet ayongerako nti kino kyakukosa nnyo eggwanga kuba kikendeezezza ku mikisa gy’okuwangula emidaali. Mu mizannyo gya Commonwealth wa 2018, Uganda yavaayo n’emidaali mukaaga ng’etaano gya misinde ate ogumu gwali gwa bikonde.
Otucet era ategeezezza nti nga balonda ttiimu, batunuulidde nnyo abo abalina omukisa okuwangula emidaali.
Abagenda; Abu Mayanja, Adoli Haron, Joshua Cheptegei, Tom Dradriga, Jacob Kiplimo, Tarsis Orogot, Victor Kiplagat ne Emmanuel Otim.
Abakazi; Scovia Ayikoru, Racheal Chebet Zena,Chebet Torotich Linet, Peruth Chemutai,Sarah Chelangat,Stella Chessang Jacent Nyamahunge,Halima Nakaayi, Winnie Nanyondo ne Shida Leni