Ebyemizannyo

Abazannyi 2 baabulira Villa

Kakomo ne Muhindo n’eyaliko ssita wa Cranes ne Villa, Andy Mwesigwa akwasaganya eby’ekikugu mu Villa mu kiiko ez’enjawulo wabula ne balemwa okukaanya. 

Muhindo (ku ddyo) ng'alemesa omuzannyi wa Express okugenda n'omupiira.
By: Ismail Mulangwa, Journalist @New Vision

AMIR Kakomo ne Benson Muhindo bakwabulira SC Villa oluvannyuma lw’endagaano zaabwe okugwaako ku nkomerero y’omwezi guno. 

Kigambibwa nti abazannyi bano bagaanyi okuzza endagaano zaabwe obuggya ne kiraabu eno oluvannyuma lw’obutabawa bye basaba. 

Kakomo ne Muhindo n’eyaliko ssita wa Cranes ne Villa, Andy Mwesigwa akwasaganya eby’ekikugu mu Villa mu kiiko ez’enjawulo wabula ne balemwa okukaanya. 

Kakomo (ku dyo) ng'attunka n'owa Express.

Kakomo (ku dyo) ng'attunka n'owa Express.

Kakomo eyabadde omusaale ennyo sizoni ewedde nga ttiimu eno esigala mu liigi, yeegatta ku Villa mu 2018. Yaliko mu Kiboga Young, Juventus Namasuba, Ssingo, Buwekula ne Gomba mu z’Amasaza. 

Ate ye Muhindo yasuumusebwa okuva mu akademi ya Villa.  Sizoni ewedde, Villa yamalidde mu kya 12 n’obubonero 33. 

Tags:
Viila
SUPL
AMIR Kakomo
Benson Muhindo

Emboozi Ezifanagana