Ronaldo asabye ManU emutunde

Jul 03, 2022

Ronaldo ayagala kuzannya Champions League ate ManU yalemwa okuyitamu okuzannya empaka zino.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUTEEBI wa ManU, Cristiano Ronaldo akatemye bakama be nti ayagala kugenda mu ttiimu ndala. Omuzannyi ono eyakomawo mu ttiimu eno ng’ava mu Juventus eya Yitale, yassa omukono ku ndagaano ya myaka ebiri era ebadde yaakatambulako omwaka gumu. Yategeezezza bakama be nti oluvannyuma lwa ManU okulemwa okukiika mu Champions League, talabawo ssuubi lya kuvuganya ku bikopo bisava sizoni eno ky’avudde asaba abaabulire. Chelsea, Napoli ne Bayern zaalaze dda nga bwe zeetaaga omuzannyi ono enzaalwa ya Portugal.

Omutendesi wa ManU, Ten Hag

Omutendesi wa ManU, Ten Hag

Bayern enoonya musika wa Robert Lewandowski eyagala okubaviira sso nga Chelsea eyagala Ronaldo ajje adde mu bigere bya Romelu Lukaku eyazzeeyo mu Inter Milan ku bbanja. Ronaldo agamba nti awulira akyalinayo emyaka esatu oba ena okuzannya omupiira ku ddaala erya waggulu awangule ebikopo kye yavudde ategeeza kitunzi we Jorge Mendes amunoonyeze ttiimu endala ezannya mu Champions League.

Wabula ebigambo bya Ronaldo bitemyemu omutendesi wa ttiimu eno Eric ten Hag n’abakulira ttiimu eno. Ten Hag agamba nti Ronaldo wa ddembe okugenda bw’aba ayagadde sso nga bakama be balina essuubi nti Omuportugal ono akyalina bingi by’agatta ku ttiimu eno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});