Kampala Queens epasudde Komuntale
Jul 21, 2022
Komuntale yabadde musale nnyo mu Crested Cranes ng’eri mu mpaka za WAFCON ezabadde e Morocco era yateeba nga bakubwa Morocco (3-1), n’afuuka omuzannyi asoose okuteebera Crested Cranes mu myaka 20 mu mpaka zino.

NewVision Reporter
@NewVision
SUMAYA Komuntale abadde emunyeenye ya Tooro Queens yeegasse ku Kampala Queens eya pulezidenti wa FUFA Ying Moses Magogo.
Komuntale abadde alwanirwa She Corporate ne Kampala Queens wabula Queens n’esinza amaanyi olwa ssente ze yamuguze.
Tooro Queens eyazze mu kibinja ekyokubiri yasaba obukadde 5 obwalemye She Corporate okuweza Komuntale n’agiyita mu ngalo.

No Comment