SMACK sports day 2022
Bwe basinganye mu bubonero
Mugwanya- 843
Lourdel- 743
Kakooza- 655
Kawinuka -637
Minisita mu ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti era omukise mu palamenti owa disitulikiti y’e Buikwe, Diana Mutasingwa yeebazizza Gavumenti olw’okwongera ssente mu byemizannyo ng’eyita mu minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo.
“Gavumenti egezzezaako okukulakulanya ebyemizannyo ng’eyita mu masomero ewali ttalanta z’abaana ezitanazuulwa era ssente z’eteekamu zaakuyamba nnyo ebyemizanyo okukulaakulana,” Mutasingwa bwe yagambye.
Yayongeddeko nti, “Gavumenti, yawa ebibuga, disitulikiti ne municipali obukadde 30 buli mwaka nga zaakukulaakulanya bitone nga bayita mu masomero.”
Abayizi nga basika omuguwa
Okwogera bino, yabade ku lunaku lw’ebyemizanyo ku ST Mary’s College Kisubi ku Ssande ng’eno abayizi baavuganyiza mu mizannyo egy’enjawulo okwabadde; hockey, rugby, omupiira, okuddukira mu kutiya, emisinde, volleyball n’emirala.
Abayizi nga baddukira mu kutiya
Akulila SMACK, Bro. Deodati Aganyira yeebazizza abayizi olwokwolesa omutindo omulungi mu mizannyo ekimu kubiyambye okukuumira essomero waggulu.
“Twagala kubulula byamizannyo mu ssomero nga tuddamu okwetaba mu mpaka ez’amaanyi eziri ku ddaala ly’ensi yonna,” Aganyira bwe yagambye.
Aganyira yayongeddeko nti essomero liyoze bannabyamizannyo bangi mu ggwanga. William Nkemba akulira emirimu mu SC villa, William Blick eyali pulezindenti wa Uganda Olympic committee n’abalala.
Abayizi ba Mugwanya be beetise olunaku n’obubonero 843 ne basitukira mu kikopo ky’omuwanguzi.