Serena Williams alangiridde okunnyuka okuzannya ttena

“KINO, kye kimu ku bintu ebizibu ennyo, bye sisobola na kulowoozaako nti sijja kuddamu kwesogga kisaawe kuzannya ttena acamula abawagizi bange,”  Bino bye bimu ku bigambo bya Serena Williams, kafulu w’omuzannyo gwa ttena bye yayogedde, ng’asiinya ku ky’okuwummula okuzannya ttena.

Serena William
By Esther Naluswata
Journalists @New Vision
“KINO, kye kimu ku bintu ebizibu ennyo, bye sisobola na kulowoozaako nti sijja kuddamu kwesogga kisaawe kuzannya ttena acamula abawagizi bange,”  Bino bye bimu ku bigambo bya Serena Williams, kafulu w’omuzannyo gwa ttena bye yayogedde, ng’asiinya ku ky’okuwummula okuzannya ttena.
Serena Williams, baamukazaako lya ‘Kimuli ky’abasajja’ olw’obungodiira bwe,  bbikini ze yeesala n’obukodyo bw’akozesa ng’azannya ttena ebinyumira ennyo abalabi. Ku bamu, bamutwala ng’omukazi, ekyasinze okuzannya ttena mu nsi yonna.
Tn 3

Tn 3

Omumerika ono, kati alina emyaka 40. Yaliko nnamba emu mu kuzannya ttena mu nsi yonna okumala ebbanga eriwera. Yatandika okuzannya omuzannyo guno ku mutendera gwa pulofeesono nga wa myaka 14 mu 1995 kyokka engule ya pulofeesono eyasooka yagiwangula mu 1999. Okuva mu 2002 okutuuka mu 2003, yali nsolo nkambwe mu ttena era yawangula empaka 4 ez’amaanyi ezaategekebwa.
Ye ng’omuzannyi, alina engule za ‘Grand Slams’ 23 omuli eza; Australian Open, French Open, US Open, Wimbledon kwossa n’emidaali gya zaabu mu mpaka za Olympics ze yeetabamu.
Kigambibwa nti ng’amaze okuzannya empaka za US open ezitandika ku nkomerero y’omwezi guno (August), w’agenda okuwummulira.
Tn 8

Tn 8

Serena, mufumbo eri Alexis Ohanian era balina omwana omu nga kati aweza emyaka 5. Kigambibwa nti beetegekera kumuzzaako era Serena, tasuubirwa kuddamu kuzannya ttena oluvannyuma lw’okuzaala omwana gwe beetegekera okufuna kuba n’emyaka, gijja kuba gimuwuubidde akaleka (kati aweza emyaka 40). Agamba nti obudde bwe kati obusinga, ayagala kubumala na ffamire ye