Beekwasizza ebisoota
Sep 06, 2022
Mu kitundu ekisooka, bano obwedda tebafuna buzibu kusamba okutuusa namutikwa w’enkuba weyatonye ekyaviriddeko ekisaawe okuseerera olw’ebisooto ebyabadde biyitiridde.

NewVision Reporter
@NewVision
Makindye Juventus 0-1 Bakitonsa FC
ABAZANNYI ba Makindye Juventus baavudde ku kisaawe kya officers’ Mess e Makindye nga bakyevuma nti kyabalemesezza okuwangula empaka za Kanta Football Tournament nebasubwa ekikopo ne 3,000,000/-
Ronnie Ssentamu (ku ddyo) ng'attunka ne Simon Katumba owa Bakitonsa FC
Mu kitundu ekisooka, bano obwedda tebafuna buzibu kusamba okutuusa namutikwa w’enkuba weyatonye ekyaviriddeko ekisaawe okuseerera olw’ebisooto ebyabadde biyitiridde.
Omupiira gwatuuse negubatabukako nga tegukyanyweera ku bigere ekyabaletedde okutandika okukuba ogw’omu bbanga. Bakitonsa FC yabawangudde (1-0).
No Comment