Kiplimo awangudde engule y'omuzannyi w'omwezi

Nabbumba yateebedde She Corporates ggoolo 6 ne asisiti 5 mu mipiira 5 gye yazannye mu za ‘CAF Women Champions League’ ezabadde e Tanzania.

Abamu ku baawangudde engule za Fortebet.
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Fortebete #Kiplimo #Cairo Bank #Duncan Mubiru #‘Fortebet Real Star Monthly Award’

BANNABYAMIZANNYO ab’enjawulo basitukidde mu ngule za ‘Fortebet Real Star Monthly Award’ bwe basukkulumye ku bannaabwe omwezi oguwedde.

Bano kuliko Jacob Kiplimo asinze mu misinde, Phionah Nabbumba eyetisse ab’omupiira, Husinah Kukundakwe anywedde akendo mu bawuzi, Brenda Ekona owa basketball ne Dancun Mubiru eyetisse aba mmotoka z’empaka.

Edgar Lurangwa (ku ddyo) ng'akwasa  Husinah Kukundakwe engule.

Edgar Lurangwa (ku ddyo) ng'akwasa Husinah Kukundakwe engule.

Omukolo kwe baakwasiddwa engule zaabwe gubadde ku ‘Route 256’ e Lugogo eggulo.

Kiplimo amezze Peruth Chemutai ne Abel Chebet olw’okuwangulira Uganda emidaali gya zaabu ebiri mu mizannyo gya Commonwealth egyabadde e Birmingham mu Bungereza. Yawangudde zaabu mu mita 10,000 ne 5,000.

Joan Mbabazi maneja wa ‘Cairo Bank’ eyamukiikiridde ne yeebaza abategesi olw’okuzzaamu bannabyamizannyo amaanyi.

Joan Mbabazi owa Cairo Bank (ku ddyo) ng'akwasa Nabbumba engule.

Joan Mbabazi owa Cairo Bank (ku ddyo) ng'akwasa Nabbumba engule.

Mu mupiira Nabbumba, ssita wa Crested Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi kwossa kiraabu ya She Corporates amezze Travis Mutyaba ne Dan Sserunkuuma.

Nabbumba yateebedde She Corporates ggoolo 6 ne asisiti 5 mu mipiira 5 gye yazannye mu za ‘CAF Women Champions League’ ezabadde e Tanzania.

Brenda Ekone owa JKL Lady Dolphins yasinze mu basketballolw’okutuusa ttiimu ku semi za ‘play-offs nga tekubiddwa, Kukundakwe yawangudde emidaali 6 mu World Military Games okwabadde zaabu ebiri, feeza 3.

N’ogw’ekikomo sso nga ‘Kikankane’ yamezze abavulumuzi ba mmotoka z’empaka olw’okuwangula empaka za ‘Masaka Rally’ nga yakiikiriddwa Isaac Mukasa omutegesi.