Ebyemizannyo

Cheptegei avudde mu z'e Bungereza

Cheptegei obubaka obukakasa okuva mu misinde gino abutadde ku mukutu gwe ogwa twitter nga ono ategezeza nga bw’abadde yeesunze emisinde gino wabula obuvune tebumusobozeseza ku gyetabamu.

Cheptegei
By: Olivia Nakate, Journalist @New Vision

MUNNAYUGANDA Joshu Cheptegei alangiridde nga bw’atagenda kwetaba mu misinde gy’okutolontoka ebyalo egya Great North ran half marathon egya kiromita 21. Emisinde gino gyakubeerawo Ssande eno.

Cheptegei obubaka obukakasa okuva mu misinde gino abutadde ku mukutu gwe ogwa twitter nga ono ategezeza nga bw’abadde yeesunze emisinde gino wabula obuvune tebumusobozeseza ku gyetabamu.

Guno mulundi ogwa 40 ng’emisinde gino giddukibwa wabula teri Munnayuganda yali agiwanguddeko. Essuubi lya Uganda kati lisugadde mu musaayimuto Jacob Kiplimo ng’ono agenda kuttunka  n’abaddusi abamanya okuli; Selemon Balega enzaalwa ya Ethiopia ne kyampiyoni w’omwaka oguwedde Omungereza Marc Scott agenda okuba ng’alwana okweza engule.

Bagenda kuttunkira mu North East England, ng'abaddusi baakutolontokera mu bitundu okuli Newcastle ne South Shields.

Tags:
Joshua Cheptegei
Great North ran half marathon
Athletics