Ebyemizannyo

Eyali omwogezi w'ekibiina ky'okubaka bamutikkidde dipulooma n'avaamu omwasi

Eyali omwogezi w'ekibiina ky'okubaka awangudde emisomo n'akinaggukira abaamuyeeyanga nti teyasoma.

Mutete (ku ddyo) ne Babirye Sarah Kityo.
By: Olivia Nakate, Journalist @New Vision

Wilberforce Mutete eyali omwogezi w'ekibiina ky'okubaka ekya Uganda Netball Federation mu kisanja kya Susan Anek, y’omu ku bayizi abasoba mu 100 abaatikiddwa ku ttendekero lya Avance International University e Nabweru.

Mutete, yatikkiddwa dipulooma mu Industrial Relations and Information Technology nga yatandika okusoma mu 2019 wabula ebyensoma ne bizing’ama olwa Covid-19.

"Nalina okusomera emyaka ebiri wabula olw'okuba mu biseera bya Covid-19 ebyensoma byataataaganyizibwa, baalina okuyimirizaamu okukkakkana ng’emyaka ebiri gye twalina okusomera gisusseemu," Mutete bwe yannyonnyodde.

Ng’akamu ku bubonero akajaguza obuwanguzi, Mutete yategese akabaga akwebaza Katonda ku Cafe Old mu Kampala akeetabiddwaako pulezidenti w'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw'okubaka Sarah Babirye Kityo n’abazannyi b'okubaka okuva mu kiraabu ez’enjawulo.

Mutete yasinzidde ku kabaga kano n’aduulira abaamukubanga olwali mu biseera we yabeerera omwogezi w'ekibiina ky'okubaka nti teyasoma, n’abagamba nti, “Ne kati muddemu mwogere ate kuno kubadde kwongereza kw’ebyo bye nasoma edda.”

Tags:
Netball
Uganda Netball Federation
Susan Anek
Sarah Babirye Kityo
Industrial Relations and Information Technology