Abasibi b'emifumbi beeswanta kuwangula mpaka
Sep 27, 2022
Kent Arereng, omwogezi wa Uganda Body Building and Fitness Association ekitwala omuzannyo guno ategeezezza nti buli kimu kiggyiddwaako engalo era balinze ssaawa yokka ziggyibweko akawuuwo.

NewVision Reporter
@NewVision
ABASIBI b’emifumbi beeswanta kuwangula mpaka za ‘Central Region Body Building Championships’ ez’omulundi guno.
Empaka zino zaakuyindira ku ISK Fitness Gym e Katwe ku Lwomukaaga. Abazannyi abasoba mu 50 be basuubirwa okuttunka mu mpaka zino ezigenda okusunsulamu abaneetaba mu za ‘Mr Uganda’ ez’okubaawo ku nkomerero y’omwaka guno.
Keneth Ssekiranda omutegesi w’empaka zino ategeezezza nti basuubira okuvuganya okw’amaanyi mu mpaka z’omulundi guno olwa bassita ab’enjawulo okukakasa bwe bagenda okuzeetabamu.
Kent Arereng, omwogezi wa Uganda Body Building and Fitness Association ekitwala omuzannyo guno ategeezezza nti buli kimu kiggyiddwaako engalo era balinze ssaawa yokka ziggyibweko akawuuwo.
No Comment