Basangwa yeegasse ku ttiimu ya Misiri

Oct 12, 2022

Yeegasse ku Wadi Degla Sporting Club ezannyira mu kibinja ekyokubiri e Misiri nga yatadde omukono ku ndagaano ya myaka esatu.

NewVision Reporter
@NewVision

RICHARD Basangwa abadde azannyira mu Gadaffi FC ku bbanja ng’ava mu Vipers yeegasse ku Bannayuganda abazannyira mu liigi y’e Misiri.

Yeegasse ku Wadi Degla Sporting Club ezannyira mu kibinja ekyokubiri e Misiri nga yatadde omukono ku ndagaano ya myaka esatu.

Vipers, bakyampiyoni ba liigi ya StarTimes Uganda Premier League, baatadde obubaka obusiibula ku mukutu gwa twitter nga baagaliza Basangwa ebirungi ku lugendo lwe olupya lw’atandiseeko.

Basangwa yeegasse ku Allan Kyambadde eyagenze mu El Dakhleya, Gavin Kizito Mugweri eyeegasse ku Al Ittihad Alexandria ku ntandikwa ya wiiki eno ne Joseph Ochaya ali mu Arab Contractors ng’ono yavudde mu TP Mazembe eya DR Congo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});