Eyaliko emmunyeenye ya Cranes ne KCC mu gy’e 80 ne 90, Jackson Mayanya aweze okulwana mu ngeri yonna esoboka okulaba ttiimu y’abatasussa myaka 20 (Hippos) gye baamukwasizza okutendeka agituusa ku ddaala erya waggulu.
Mayanja, eyasikidde Morley Byekaso, eyatuusizza ttiimu eno ku fayinolo y’eza Afrika mu 2021, agamba nti ayagala ttiimu eno ereme kukola bulungi mu za Afrika mwokka wabula egende ne mu World Cup.
Yagasseeko nti bagenda kusookera kuwangula kikopo kya CECAFA U-20 ezigenda okuyindira mu Sudan wakati wa October 28 ne November 11) kyokka ng’ekirooto kyabwe kya kiika mu World Cup eneebera mu World Cup mu Indonesia omwaka ogujja.

Jackson Mayanja
Mayanja agamba nti FUFA yakoze bulungi okulaba nti y’omu ku balina omupiira omukwafu era abalina obumanyirivu bw’asaanye okuwaako bamusaayimuto n’asuubiza obutabayiwa.
“Nsiima FUFA okumpa omulimu guno n’okumanya nti nnina ettoffaali eddene lye nkyasobola okussa ku mupiira gwa Uganda. Abazannyi bampadde essuubi kubanga omupiira bagumanyi. Natandikidde mu kubasomesa ntambuza ya mupiira ey’omulembe gye njagala era bagikutte mangu mu nnaku ennya zokka ze baakamala ku ttiimu nga kyatusobosezza okumegga KCCA FC ggoolo 2-1 mu gw’okwegezaamu e Lugogo,” Mayanja bw’ategeezezza.
Agambye nti ayagala okusukka we yakoma mu 2003-2005 bwe yali omumyuka wa Charles Namakoola nga batendeka ttiimu y’abatasussa myaka 23 eyavaamu abasambi abaateeka Uganda ku maapu okuli Geoffrey Massa, Godfrey Walusimbi, Brian Umony n’abalala.