Owa Vipers awangudde engule y'omwezi

Nov 01, 2022

Obuwanguzi bwe buvudde ku mutindo omusuffu gwe yayolesezza nga Vipers ewandulamu TP Mazembe eya DR Congo mu mpaka za CAF Champions League bwe yabayisizzaawo nga tateebeddwaamu mu nzannya zombi. Bawangudde 4-2 mu peneti.

NewVision Reporter
@NewVision

BANNAYAMIZANNYO ab’enjawulo bajaganya olw’okuwangula engule za ‘Fortebet Real Star Monthly Award’ ez’omwezi oguwedde.

Bano baakulembeddwa Alfred Mudekereza ggoolokipa wa Vipers SC ng’ono yamezze aboomupiira.

Mudekereza amezze Phillip Wandayaka owa BUL FC ne Rashid Toha omuzibizi wa Onduparaka.

Obuwanguzi bwe buvudde ku mutindo omusuffu gwe yayolesezza nga Vipers ewandulamu TP Mazembe eya DR Congo mu mpaka za CAF Champions League bwe yabayisizzaawo nga tateebeddwaamu mu nzannya zombi. Bawangudde 4-2 mu peneti.

Omukolo kwe babakwasirizza engule zaabwe gubadde ku Route 256 e Lugogo.

Abalala abawangudde Andrew Ssekibejja eyanywedde akendo mu ba golf olw’okusitukira mu ngule ya 2022 Tusker Malt Uganda Golf Amateur Open. Abalala kuliko; Rose Akon (basketball) ng’ono yayambye UCU Lady Canons okuwangula liigi y’eggwanga eya basketball, Christine Birungi owa Ndejje University n’asinga aba woodball, Immaculate Nakisuyi na’situkira mu ya cricket sso nga munnamawulire Fifi Phiona Pink aweereddwa engule olw’okukola obutaweera mu kutumbula emizannyo mu myaka 10 gy’agiweererezza.

Omukolo gwetabiddwaako Resty Mbatidde omukungu wa Fortebet, Isaac Mukasa omutegesi waazo ne Henry Zimbe owa Jude Color Solutions.

Phillip Wandyaka owa BUL eyateebye ggoolo 4 mu mipiira 5 ne Rashid Toha omuzibizi wa Onduparaka eyateebye ggoolo 2 mu mipiira 3 mu ligii. Phillip Wandayaka owa BUL eyateebye ggolo 4 mu mipiira 5 ne Rashid Toha omuzibizi wa Onduparaka eyateebye ggoolo 2 mu mipiira 3 mu liigi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});