Kassim Ouma akomawo mu migwa ku Boxing Day

Nov 10, 2022

Ouma agamba waakuggunda Okwiri asirise abalowooza nti awedde ku mpagala. Ajjukirwa olw’okuwangula omusipi gw’ensi yonna ogwa IBF World Junior Middle weight title’ mu 2004 bwe yakuba Omumerika Verno Phillips n’amuleka mu kkubiro.

NewVision Reporter
@NewVision

OLULWANA lwa Munnayuganda Kasim ‘The Dream’ Ouma ne Munnakenya Rayton Okwiri lutongozeddwa. Omukolo gubadde ku Cooper Chimney Restaurant e Lugogo. Ouma ne Okwiri baakulya matereke ku Boxing Day mu lulwana olusuubirwa okubaako n’obugombe.

Lugenda kubumbujjira ku Lugogo Cricket Oval mu Kampala nga lutegekeddwa 12 Sports Rounds Boxing Promotions ne Bukedde TV1. Bagenda kuttunka mu buzito bwa ‘middle’ laawundi 10 ng’awamu ennwaana 13 ze zigenda okuzannyibwa.

Stephen Sembuya omutegesi w'olulwana luno ku kkono addiriddwa David Ssemujju, Simon Katongole amyuka Salim Uhuru ku bwapulezidenti bwa UPBC, Yusuf Babu ne Faizo Ali Shinda (ku ddyo) mu kutongoza kw'olulwana luno e Lugogo.

Stephen Sembuya omutegesi w'olulwana luno ku kkono addiriddwa David Ssemujju, Simon Katongole amyuka Salim Uhuru ku bwapulezidenti bwa UPBC, Yusuf Babu ne Faizo Ali Shinda (ku ddyo) mu kutongoza kw'olulwana luno e Lugogo.

Ouma agamba waakuggunda Okwiri asirise abalowooza nti awedde ku mpagala. Ajjukirwa olw’okuwangula omusipi gw’ensi yonna ogwa IBF World Junior Middle weight title’ mu 2004 bwe yakuba Omumerika Verno Phillips n’amuleka mu kkubiro. Mu nnwaana endala, Yusuf Babu waakuttunka n’Omutanzania Alphonce Mchumiatumbo mu buzito bwa ‘heavy’.

David Ssemujju bumwefuke n’Omutanzania omulala Saleh Mkalekwa ku musipi gwa ABU Regional Super Welter Weight Title. Isaac Ssebuufu waakulwanira omusipi gw’eggwanga ne Mubarak Seguya ‘General Sensor’, Kamada Ntege ‘Sure Fire’ ne Medi Bukenya, Conrad Sseruyange ‘The King Kong’ ne Ali Messiah Mirembe n’abalala.

Stephen Sembuya owa 12 Sports Rounds Boxing Promotions etegese olulwana luno akunze abawagizi okweyiwa ku kikonde eky’ebyafaayo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});