Empaka z'abasomerako ku ssomero lya St Marys College Kisubi SMACK beswanta okumalako sizoni y'omupiira gwa SMACK mu league ey'omwaka guno.
Emizanyo gya liigi eno egisembayo Gigenda kubeerawo ku ssande ya wiiki eno ku Lgends rugby grounds e lugogo nga abantu bakunyumirwa emizanyo egyenjawulo .
Liigi wetuukide ku lunaku olusembayo nga tiimu bbiri okuli Zulus ne Block Owners zilwaanira kikopo nga Zulus ekulembede n'akabonero kamu ng'erina obubonero 40 ate Block Owners 39.
Wewaawo mu kifo ekyokusatu, ttiimu ya Mafias eri ku bubonero 33 nga esibaganye ne Knights ku bubonero bwe bumu ate nga Venoms Elina obubonero 31.