OMUTENDESI wa SC Villa, Jackson Magera ne batabani be bafunye ku buweerero oluvannyuma lw’omuwuwuttanyi Patrick Kakande okubaggya ku kaguwa ne bamegga Maroons FC (1-0) mu liigi ya babinywera eya StarTimes Uganda Premier League ku Ssande.
Villa, ebadde emaze emipiira esatu egya liigi nga tefuna buwabguzi era yebbululidde ku Maroons e Lira gye bakyalizza ng’ekisaawe temuli bawagizi olw’ekkoligo lya FUFA lye baliko oluvannyuma lw’okukola effujjo nga bawangulwa Wakiso Giants (2-1) gye buvuddeko.

Patrick Kakande eyateebye ggoolo ya Villa ey'obuwanguzi.
Omwezi oguwedde ogwa November, Villa yawanguddemu omupiira gumu gwokka ogwa Arua Hill n’ekubwa Vipers (2-0), KCCA (3-0) ne Wakiso Giants (2-1).
Kakande eyabadde omuzannyi w’olunaku ye yafunidde Villa obuwanguzi olwa ggoolo ye gye yateebye mu ddakiika y’e 11, wabula ye Kenneth Ssemakula teyagumazeeko bwe yafunye kaadi emmyuufu mu ddakiika ya 50.