KAPITEENI wa Argentina, Lionel Messi agambye nti mu World Cup wadde mulimu amawanga nga Bufalansa, Spain ne Bungereza agakola obulungi, ye ne banne basinga kweraliikira Brazil era tebasaba kugisisinkana ssaawa eno.
Messi, azannya World Cup ye esemba era ng'ayagala kuwummula na kikopo agamba ttiimu yokka esobola okuyimirira mu kirooto kye ye Brazil bwe bava ku ssemazinga omu (South Amerika).
Argentina yasiitaanye okukuba Australia (2-1) okwesogga 'quarter'.